Amagye geefuze buli kimu, alipoota eraga bannansi tebakyalina buyinza obubaweebwa ssemateeka
Waliwo alipoota efulumiziddwa ng'eraga ng'amagye ga Uganda bwegeddizza obuyinza ku buli kimu mu ggwanga. Alipoota eno evudde mu kunoonyereza okwakoleddwa ekitongole kya Great Lakes Institute for Strategic Studies and Innovations for Democratic Engagement and Action, eraga nti abantu tebakyalina buyinza obubaweebwa ssemateeka ku nsonga ezenjawulo mu ggwanga, nga kati buli mu mikono gyamagye.