Amasannyalaze agavaako buli kadde, aba UEDCL bagamba waliwo ebyuma ebifu
Tulansifoma 113 ze zakazuulibwa nga tezikola mu bbanga lya sabiiti emu nga gavumenti yakakyuusa obuvunanyizibwa bwa UMEME nebukwasa ekitongole kyayo ki Uganda Electricity Distribution Company Limited. Kati ekitongole kino, kuno kwekisimbye omulaka nti ye nsonga eviiriddeko ekibululu okulabwako mu bitundu by'eggwanga ebitali bimu. Kati bino byonna okutereera, ab'ekitongole ekiyambako mu kugulira gavumenti ebintu n'okugitundira ebyonoonese ki PPDA ky'agala etteeka mwebakolera likyusiibwewo okubawonya emyetoloola gya wofiisi nga bagula ekintu kimu, olwo wabeewo engeri gye bigulibwa obutereevu.