Amazzi gabooze E Bulambuli, omuntu omu afudde n’amayumba gasaanyewo
Tukitegedde nti omuntu omu yeyafiiriddewo abalala ne bagenda n’e bisago, oluvanyuma lw’enkuba etasalako okutonnya mu disitukiikiti ye Bulambuli n’ereka abatuuze abasoba mu 800 nga tebasigazza wa kusula.Enkuba eno yakosezza eggombolola nnya okuli Bumufuni, Bunambutye,Bukhonge ne Nabongo.Kati bano baagala gavumenti okubayamba mu bwangu ddala nga tebanatondoka olwembeera gye bayitamu.