Okwetegekera ez'amasaza: Nsambu awadde ttiimu ya Buddu amaanyi
Bannantameggwa b’empaka z’omupiira gw’amasaza aba Buddu bongedde amaanyi mu kukola enteekateeka ez’okweddiza ekikopo kino, nga bayita mu kukunga abawagizi okubawa obuvugirizi bw’ensimbi n’ebikozesebwa mu muzannyo gw’omupiira. Omubaka wa Uganda mu Algeria, Alintuma Nsambu y’omu ku basoose okuwagira enteekateeka eno bwabawaddeyo emipiira amakumi abiri mwetano, obukadde kkumi ate n'abasuubiza okubawa engatto z’omupiira zebanakozesa mu mpaka z’omwaka guno.Empaka z’omupiira gw'amasaza ez’omwaka guno zakujjibwaako akawuwo mu mwezi gw’omusanvu.