NRM esabiddwa okukendeeza ku bisale ebyasabiddwa abaagala okuvuganya mu kamyufu
Bannakyewa kko n’abatakabanira enfuga ey’amateeka baagala ekibiina ki N.R.M kikendeeze ku bisale byekyasabye abaagala okuvuganya mu kamyufu k’ekikiina. Bagamba nti okwongeza ebisale bino kigenda kutangira abamu naddala abavubuka kko n’abakyala okwegazaanyiza mu by’obufuzi.Kyoka bbo abakulu mu N.R.M bagamba nti okutuuka ku kusalawo bamaaze kwebuuza kyenkana ku buli omu