Ab’enzikiriza ezigoberera Kristo wano mu Kampala bakedde kwetaba mu kutambuza kkubo lya musaalaba
Okutambuza ekkubo ly’omusaalaba kwekujjukirirwa olugendo Yesu Kristo lwe yatambula nga bamutwala ku musaalaba kweyakomererwa. Nga bwegutera okuba buli mwaka, n’olwaleero ab’enzikiriza ezigoberera Kristo wano mu Kampala omubadde ne bannabyabufuzi bakedde kwetaba mu kutambuza ekkubo ly’omusaalaba nga bakulembeddwa abakulira enzikiriza zino. Bbo Abakristu okuva ku Eklezia ya Our Lady of Africa e Mbuya mu kwefuumiiriza bakoze ebyefaanaanyiza embeera bweyali mu biseera bya Yesu.