Emisaala gy’abasomesa emitono: UNATU eddukidde mu kakiiko ka bwenkanya
Abasomesa nga bayita mu kibiina kyabwe ki UNATU babuulidde akakiiko akalera obwenkanya ka Eqaul Opportunities Commission nti obutali bwenkanya obuli mu nsasula y'e misaala gyabwe abamu etandise okubawaliririza okulekulira.Bagamba nti banaabwe abasomesa amasomo ga sayansi basasulwa buwanana , kyoka ate abasomesa aga Arts ne basasulwa bunusu , ekireseewo enjawukana n'okunafuya abamu. Baagala akakiiko kano kabagambire ku gavumenti ensonga zaabwe ezifeeko mu mbalirira y'omwaka ogujja 2025-2026.