Amasasi agaali e Buddo; amagye g’eddizza eby’okunoonyereza ku musango
Kitegeerekese ng'amagye bwegeddizza emitambo gy'okunoonyereza ku musango gw'okuwandagaza amasasi agaviirako okufa kw'abantu babiri e Buddo wiiki ewedde. Omu ku baafiira mu kwesooza kw'amasasi okwaliwo akawungeezi k'olwokusatu lwa wiiki ewedde ye Eveline Nalumansi ng'ono yaleka abalongo ab'emyaka ena gyokka Bba w'omugenzi Moses Katende agamba embeera yakyuka okuva mukyala we lwe yafa.