AMEEFUGA GA UGANDA: Museveni waakukola emikwano emirala egizimba eggwanga
President Yoweri Kaguta Museveni agamba nti Uganda egenda okwongera okuzimba emikwano egiyinza okugiyambako okukulaakulana okuva mu mawanga amalala okusinga okwesiba kwabo abalowooza okuleeta kuno omuze gwebisiyiga.Museveni era bategeezeza nti agenda okwenyigira mu kulaba nga ssentebe wa district ye Amudat ekolwako ng’amateeka bwegalagira nga ono atebeeberezebwa okuba nga abadde yekobaana n'abba ente ekivaako okutabangula emirembe mu kitundu kino.Bino Museveni abyogeredde ku mukolo gw'okujjaguza nga bwegiweze emyaka 61 nga Uganda efunye ameefuga.