Among yeebalamye okwanukula ebigambo bya Kadaga bwe bavuganya
Sipiika wa palamenti Anita Among mukakafu nti waakuwangulira waggulu mu kulonda kw’obukulembeze obwokuntiko obw’ekibiina ki NRM okugenda okubaawo ku nkomerero y’omwezi guno. Among asinzidde mu disitulikiti ye Buyende gyasiibye ngaperereza bannaNRM okumulonda ku kifo kyamyuka ssentebe wa NRM ow’okubiri owabakyala. Ono ategeezezza nga bwawa munne bwe bavuganya Rebeca Kadaga ekitiibwa, era nga siwakumwanukulu ku byazze amwogerera.