Babiri ab’akakiiko akagaba emirimu e Rakai bakwatiddwa
Poliisi wamu n'ab'akakiiko akalwanyisa bulyake mu maka g'omukulembeze w'eggwanga baliko abakungu be bakutte mu Disitulikiti y'e Rakai lwa kusaba kyogyamumiro kya Bukadde makumi abiri okuva eri abo abaasaba emirimu gya gavumenti. Ku bakwatiddwa kuliko David Mpuuga nga y'akulira akakiiko akagaba emirimu mu Disitulikiti y'e Rakai, kwossa Alex Mazinga, ng'ono ye muwandiisi w'akakiiko kano.