Bamala kutusasula - Bannyini mayumba e Lusanja ne Kiteezi boogedde
Waliwo bannanyini mayumba e Kiteezi ne Lusanja abaliraanye ekituntu ewali kasasiro aberayiride nga bwebatagenda kuva mu kilo kino okujako nga bamaze kuliyirirwa. Kidiride gavumenti okusooka okulagira abantu bona abali mu mita 200 okuliraana ekifo ewaagwa ejenga kasasiro bweyabumbulukuka n’atta abantu okusooka aberayiri nga kati yayongezaayo okutuusa ku mita 500.