Bannayuganda ab'enjawulo bakungubagidde Shaka Ssali
Bannayuganda bakungubagidde Munnamawulire Shaka Ssali eyavudde mu bulamu bw’ensi eno olunaku lw'eggulo oluvannyuma lw'ebbanga ng'olumbe lumubala embiriizi. Ssali emirimu abadde agikolera mu ggwanga lya Amerika gye yakolera erinnya ku pulogulaamu ekwatagana n'ebyobufuzi ku lukalu lwa Africa eyitibwa Straight talk Africa ku mukutu gwa Voice of America. Bano ono bamwogeddeko nga omusajja atuukirizza era nawanika ekifananyi ky’eggwanga, era nga alafuubanye okulaba nga demokulasiya ku lukalu lwa Africa abukala. Abamu ku batuuze mu kitundu kye kigezi benyamivu nti omuntu waabwe agenda kuziikibwa mu ggwanga gy’abadde awangaalira.