Ebirime ebiva ebweru byeyongedde e Lango, abasuubuzi boogedde kwe kiva
Abantu mu kitundu kye Lango baagala gavumenti eyongere amanyi mukutumbula ebyobulimi ng'eyita mu kusomesa abaayo ennima eyomulembe. Kino kiddiridde ebirime ebiva mu mawanga g'omuliraano okwefuga obutale mu kitundu kino. Abatuuze mu kitundu kino bagamba nti embeera eno evudde ku by'obulimi mu kitundu kino okusereba, ekivuddeko amakungula okuba amatono nga tegasobola kuwanirira bwetaavu bw'abantu mu kitundu.