Ebisuubizo by’omukulembeze, e Kabale bingi ebitanatuukirizibwa
Abakulembeze kko n’abatuuze mu bendobendo lye Kigezi baagala omukulembeze w’e ggwanga afeeyo nnyo ku bisuubizo byazze yeeyama gyebali kyoka nga nakaano alinga eyabyerabira. Bano banokoddeyo eky’okusuubiza okusuumusa munisipaali ye kabaale okufuuka ekibuga, kyoka nakakano alinga eyakyerabira. Bino babyogedde balindirira okukyala kwa pulezidenti mu kitundu kino okutandika ku lw’okusatu lwa sabiiti eno.