Ebizinga by’e Ssese: Ateekateeka okukyalayo manya bino
Abantu bangi abagenda mu district y’e Kalangala olw’ensonga ez’enjawulo. Eriyo abagenda okukyakala oba okulambula, okukola eby’obusuubuzi, okusengayo n’ensonga endala. Ekitundu kino ekikolebwa ebizinga ebiwera 84 kirimu obuwangwa, ennono, emizizo n’obulombolombo bingi abagendayo bye batamanyi nga ebimu ku byo kigambibwa bw’obisobya osobola okufuna obuzibu. Mu mboozi yaffe eno tukulabululira bye wandisaanidde okumanya nga onoogenda mũ bizinga by’e Ssese.