Musigansimbi yeekubidde enduulu: NEMA eyagala kumenya kkolero lye
Waliwo musigansimbi alaajana oluvannyuma lw’okuweebwa ekiwandiiko okuva mu NEMA nga kimuwa nsalessale ennaku 21 okumenyawo ekkolero lye erikola Sseminti omuva Tiles kyokka nga alumiriza nti yatuukiriza ebisaanyizo ebyamusabibwa. Ensonga zino omuwabuzi wa pulezidenti ku by'obutonde bw'ensi Prof. Gilbert Bukenya aziyingiddemu n’alagira aba NEMA obutageza kumenya kkolero lino.