EBY’E SSESE: Ziizino empuku abasooka mwe baasulanga
Ku kizinga Buggala ekimu ku ebyo ebiri e Ssese, kuliko empuku eyasulwangamu omu ku Bakatikkiro b’essiga ly’enkima erya Ssebuggala. Ono kigambibwa yagisulamu okumala emyaka 15 mu ngeri y’okwekweka abafuzi b’amatwale abaali bagobye abatuuze ku bizinga byonna ebiri e Ssese olw’ekirwadde kya mmongoota ekyali kibamalawo. Mu kiseera kino waliwo omuzzukulu ayongedde okugaziya empuku eno n’ekigendererwa eky’okukuuma ebyafaayo n’obuwangwa mu ngeri eyoleka n’omulembe oguliwo. Ayagala kugifuula kyabulambuzi.