Ebya PLE bifulumye: Abayizi abaayitidde mu ddaala erisooka bakendedde
Ebigezo by'ekyomusanvu ebyomwaka oguwedde bifulumye olwaleero era ngabalenzi be baleebezza bannaabwe abawala .Kyokka ku mulundi guno, omuwendo gw'abayizi abaayitidde mu ddaala erisooka gukendedde bwogerageranya ku bwegwali omwaka oguwedde .Amasomero mu bitundu bye Bugwanjuba ge gasinze okukola obulungi.