Ebyava mu kamyufu ka NRM, akakiiko enkya lwe katandika okukola ku kwemulugunya
Abamu ku bannakibiina ki NRM abaawanguddwa mu kamyufu k’e kampala akaakubiddwa ku mutendera gwa gavumenti ez’ebitundu ssabiiti ewedde basazeewo okwesimbawo ku bwannamunigina nga bagamba nti okulonda kwajjula ebirumira. Bano nga bakulembeddwamu Thadeus Musooke Nagenda abadde yesimbyewo ku bwa Loodi Meeya mu NRM agamba akalulu Kano keyolekamu emivuyo mingi kyoka ate bwebagezako okwekubira enduulu mu kakiiko ke by’okulonda ne batafuna bwenkanya.Kyoka bano bagamba nti ensonga zaabwe ayinza okuzikolako yekka ye mukulembeze we ggwanga.