Eddwaliro lye Kotido: abasawo tebamala, abalwadde bangi tebafuna bujjanjabi
Tukitegedde nti ku ddwaaliro ekkulu erya Kotido, abalwadde bangi tebafuna obujjanjabi bwetaagisa olw’omuwendo gw’abasawo okuba omutono ddala. Okuva eddwaliro lwelyasumuusibwa okuva ku ddaala lya Health Centre IV nerifuulibwa Hospital mu 2021, omuwendo gw’abasawo tegwongerwangako. Ku basawo abasoba mu 200 abeetagisa, eddwaliro lino lirinako abasawo 24 bokka. Omusassi waffe Herbert Kamoga atuseeko mu ddwaliro lino okulaba embeera gyeririmu era bino by’atugiddeyo.