Edward Akol ye ssaababalirizi wa gavumenti omuggya
Nampala w’oludda oluvuganya mu palamenti John Baptist Nambeshe, ayagala wabeewo kampuni engundiivu erondebwa eweebwe obuvunaanyizibwa okulondoola ebikolebwa mu wofiisi ya ssaababalirizi wa Gavumenti .Wofiisi ya Ssaababalirizi wa gavumenti yetunnula mu nsasaanya y'ebitongole bya gavumenti ..Bino byogeddwa nga akakiiko ka palamenti akasunsula n’okukakasa abantu ababeera bawereddwa emirimu omukulembeze weggwanga, kakamala okusunsula Edward Akol, eyalondeddwa okubeera Ssaababalirizi w’ebitabo bya gavumenti omugya .