Ekika ky’Akasimba kyakuttunka n’ekika ky’engabi Ennyunga mu mupiira gw'ebika by’Abaganda
Ekika ky’Akasimba kyakuttunka n’ekika ky’engabi Ennyunga mu mupiira ogugenda okuggulawo empaka z’ebika by’Abaganda ez'omwaka guno mu kisawe e Wankulukuku olunaku olw’enkya. Empaka zino zaakuzannyibwa mu bisaawe eby’enjawulo era ebika ebimu bitubuulidde engeri gye beetegeseemu.