EKIRWADDE KYA POLIO: E Mbale waliwo abaana abaaggyiddwako sampolo
Ab'ebyobulamu mu kibuga Mbale batubuulidde nti baliko abaana babiri bebanoonyerezaako nga kiteeberezebwa nti balina ekirwadde kya polio ekyazuuliddwa mu kitundu kino.Bano batubuulidde nti sampolo zagiddwa ku baana bano nezitwaliibwa mu Meekalirizo amakulu mu ggwanga okuzuula ekituufu.Ministry y'ebyobulamu yalangirira nga bwe bazuula akawuka ka polio mu sampolo ze bajja mu kimu ku binnya bya Kazambi ekyaleetawo okutya nti obulwadde buno bwandisasaana.