EKITA EKITAVA KU SSENGEJJERO: Kahinda Otafiire yakamala emyaka 25 mu palamenti
Major General Kahinda Otafiire y’omu ku babaka ba palamenti abaweerezza okuviira ddala mu mwaka 1996 , songa aweerezza ne mu bifo eby’enjawulo nga Minisita kko ne mu maggye g’e ggwanga. Ono y’omu ku bantu abataano abeegwanyiza okukwata kaada y’ekibiina ki NRM e Ruhinda South bwaba ayiseemu nate addemu okukiikirira ekitundu kino wakati wa 2026 okutuuka 2031.Samuel Ssebuliba atunuulidde omukululo ggwe bukyanga ayingira byabufuzi.