Okulonda kwa 2026, e Mubende NRM yeefuze olwokaano
Ebbugumu lyatandise dda okweyoleka e Mubende ng’akalulu ka bonna kabindabinda.Abeegwanyiza ebifo bya palamenti ebina ebiri mu disitulikiti eno beeyongedde obungi nga ku kya Buweekula County mu kiseera kino kuliko abantu 14 era nga Buli omu awera nkolokooto.Nga ne NRM nayo etakaateka akamyufu kaayo, twagala twetegereze engeri olwokaano luno buli omu bwe yeetegese okuluvvunuuka.