Emyaka 7 nga tebawoza, baabano abooluganda abakonedde mu kkomera
Mu mboozi yaffe eyookubiri ey'ab’oluganda ababiri abamaze emyaka 7 nga bali mu kkomera e Masaka nga tebawozesebwa, abantu baabwe n'abasibe b'ennyini bagaanye enteekateeka y’okubaperereza bamale gakkiriza nti bazza omusango basalirwe awatali kuwoza. Bannamateeka bagamba kikyamu okukandaaliriza omuntu mu kkomera nga tawozesebwa naye ate tekitegeeza kumukaka kukkiriza musango gw'atazza olw'okwagala okwewonya ekkomera.