EKKOBAANE LY’OKULYA ENGUZI: Ababaka abalala babiri bayiddwa okweyanjula ku poliisi
Ensonda ku palamenti zitutegeezezza nti waliwo ababaka ba palamenti babiri abayitiddwa okugenda ku poliisi benyonyoleko nti benyigira mu kukozesa obubi ensimbi ezekuusa ku kuliyirira ebibiina by’obwegassi oba Cooperatives, bano basuubirwa okugenda ku kitebe kya bambega ba poliisi e Kibuli akadde kona.Omu ku babaka bano ava mu bugwanjuba bwa Uganda ate omulala ava mu buvanjuba Bino w’ebijidde nga omwogezi wa poliisi Fred Enanga yegaanyi okuba nga poliisi eriko ababaka ba palamenti beyayise okwewozaako ku nsonga yonna.