Embuyaga y’e Kalangala, abaakoseddwa bangi tebanafuna wakusula
Olunaku lw’eggulo twakitegedde nti abantu basatu baafiriddewo ku kizinga Buggala mu disitulikiti ye Kalangala, omuyaga ogumanyiddwa nga Ensoke bwegwalumbye ekitundu kino, negumenya buli kyabaddeko. Abakulu mu kitundu kino batugambye nti abatuuze okusanyaawo obutonde bwensi , nadala okutema emiti, kyekiviiriddeko kalunsambulira ono. Kyokka beetamye okudukirira abartuuze abataasigazza kantu.