Emmaali y’omuyindi eyatemulwa: Bannamateeka bawabudde ekirina okukolebwa
Mu mboozi yaffe ey'omukyala Aisha Ibolo eyali yafumbirwa munnansi wa Buyindi gwe baatemula kyokka ye n'omwana gwe yamuzaalamu nebatabaako ke bafune, tukuleetedde ekitundu eky'okusatu, nga bannamateeka bannyonnyola ensonga zino bwe zirina okutambula singa Ibolo aba wakufuna bwenkanya. Naawe nno gyoli bikukwataako kubanga bangi ababonaabona nga ba nnyinimu bafudde olw'obutamanya ky'akukola mu mateeka.