Ensambaggere: Hausi Mbaata akomawo mu nsiike
Hausi Mbaata omu ku bazannyi ba kickboxing omwatiikirivu mu bitundu by'e Mbarara waakudda mu nsiike ku Lwomukaaga luno bwanaaba attunka ne munnansi wa Kenya mu lumu ku nnwana ezitegekeddwa ku Agip Hotel mu kibuga Mbarara. Ono yeegatiddwako Titus Tugume omu ku bannantameggwa b'empaka ez'enjawulo mu muzannyo gwa kickboxing wamu n'abalwanyi abalala. Empaka zino zigendereddwamu okwongera okutumbula omuzannyo gwa kickboxing mu bitundu bye bugwanjuba.