Okukwatira DP bendera: Abeegwanyiza batandise okukima empapula
Oluvannyuma lw'okuggulawo oluggi eri abaagala okwatira DP bendera ku bifo eby'enjawulo ku Lwokuna lwa Sabiiti ewedde, abantu abakunukkiriza mu nsavu beebakaggyayo empapula nga beegwanyiza okukwatira ekibiina bendera ku bifo eby’enjawulo, okuli obubaka bwa palamenti, ba Ssentebe ab’eggombolola ne disitulikiti kwossa ba kkansala ku mitendera egy’enjawulo. Kennedy Mutenyo akulira akakiiko k'ebyokulonda, mu DP atugambye nti, abantu bakyajja mu musolesoole wabula nga bakyasuubira omuwendo guno okweyongera. Mu baggyeyo empapula olwaleero kwekubadde eyaliko meeya wa Mukono, Fred Kagimu ng’ono ayagala kusiguukulula Betty Nambooze ku ky’omubaka wa Munisipaali y’e Mukono.