EMPAKA Z’AMASOMERO: Ttiimu 16 ziyiseewo okwesogga oluzannya oluddako
Empaka z'eggwanga ez'omupiira gwa balenzi aba siniya zziyingide olunaaku olw’okutaano olwaleero , mubisawe ebyenjawulo mubitundu bya Teso. Tiimu 16 zeziyisewo olwalero, okwongera okuranirra ekikopo kiino, nga Uganda Martyrs Rubaga ekubye Standard High School goolo 2-0 okuyitawo, nga kaati bakuzanya ne Kibuli SS abakubye Buziga Islamic goolo 4-1. Mujimu kumipiira emiirara egizanyidwa, St. Mary’s Kitende ekubye Bishop Comboni goolo 3-0 ate aba kawempe Muslim bakubye bakubye Kisozi goolo 4-0.