Omulimu gw’okuzimba ekisaawe kye Hoima guliko wegutuuse
Omulimu gw’okuzimba e Kisaawe ky’omupiira e Hoima guliko wegutuuse era nga bwekataligyirya kyakugyibwako engalo mu mwezi gwa December omwaka guno. Olunaku lw’eggulo, Akakiiko akateekateeka okukyaza empaka z’a CHAN owomwaka guno ne AFCON wa 2027 kalambudde omulimu guno wegutuuse. Bano baakulembeddwa Minisita Omubeezi ow’ebyemizannyo Peter Ogwang.