Engozi eyambye okutaasa obulamu bwa bannakigezi
Etundundu ly’e kigezi lijjudde ensozi n’ebikko, ekikikifuula ekizubu ddala abaliyo okutambuza abalwadde okubatuusa ku malwaliro agali okumpi. Abatuuze mu gombolola nga Muko, Kamwezi, Kyanamira ne Maziba ebiseera ebisinga beyambisa buwuuba oba obutanda obutambuza abalwadde obukolerere, buyite Stretchers, okutambuza abalwadde naddala abakyala ab’embuto okubatwala mu malwaliro nga babajja mu nsozi gyebawangaalira. Tubadde mu kitundu kino ne tuloba ennaku bano gye bayitamu.