EMPAKA Z’EBIKA: Ab’ennyonyi Nnyange batandise na buwanguzi mu z’okubaka
Banantameggwa b’empaka z’ebika bya Buganda ab’ennyonyi Ennyange batandise na buwanguzi mu mpaka z'omwaka guno ezijidwako akawuwo olwaleero mu kisawe e Nambole bwe bakubye ab'ensenene ggoolo 52-08 mu luzannya mu lumu ku nzannya ezigudewo empaka zino. Mu nzannya endala Omutima Omusagi gukubye enjovu ggoolo 27-21, ate Engeye n’ekuba Omusu ggoolo 38-19 .