Enamba za digito: ababangibwa ebipapula baakusooka kubisasula okuzifuna
Minisita Omubeezi ow'ebyentambula Fred Byamukama agamba nti wa kidduka kirina kipapula kya ’ngassi, agenda kufuna nnamba ya digito ku kidduka kye. Wabaddewo okutya nti gavumenti eyolekedde okufiirwa obulondo bw'ensimbi singa ab'ebidduka ebirina ebipapula by'engassi ebitannasasulwa baweebwa nnamaba empya eza digito. Okusinziira ku minisita Byamukama, omuntu okufuna nnamba ya digito alina kukakasa nti nnamba puleeti enkadde terina kipapula ekitannasasulwa.