Enkuba e Bombo esudde ebizimbe by’amasomero agawerako
Ng'ensi ekyatenda akasana akaaka okuzuukusa kaweekwa e Gangu, ate enkuba ekafubutukiddemu nayo batandise okugyasimula bugolo.E Bombo mu district y'e Luweero eyatonnyeyo yalesse eyonoonye ebintu bya bukadde ng'okusinga amasomero ge gaasinze okukosebwa.Mangi ku go obusolya tegaasigazza era nga abayizi tusanze basobeddwa ekiddako. Abakulembeze bbo batandise kulaajanira gavumenti ejje ebadduukirire.