ENSIMBI Z’EMYOOGA: E Masaka waliwo bebazinyazeeko nga bagabana
Waliwo abagoba ba bodaboda abali mu kusattira oluvannyuma lw'ekibinja ky'abanyazi okubalumba nebababbako ssente ze baabadde baakafunira mu nteekateeka y'emyooga.Bino byabadde ku kyalo Kijjabwemi mu kibuga Masaka era nga bano baabadde batudde kubaako kibinja kyebagabira ensimbi zino.Poliisi etubuulidde nti nayo ekyakola o kunoonyereza okuzuula nga bano tebanoonya luwenda lubuzaabuza ngeri gye beeyambisaamu nsimbi zabaweebwa.