Entekaateka ezitangira amataba agalumba Kasese ziwedde okukolebwa
Disitulikiti ye Kasese y'emu kwezo ezimanyiddwa okutawanyiibwa ebijja n'okusaanawo kw'obutonde bw'ensi naddala amataba n'okubumbululuka kw'e ttaka. Emyaka nga 10 kati egyakayita abantu bazze bafiirwa obulamu kko n'okwonoonerwa ebintu mu kitundu kino.Kati leero katulabe abantu engeri gye beeretera akatyabaga kano, kko n'ebikoleddwa abatuuze mu okuloba nga bakakkanya embeera eno.