Josephine Namiiroo, omuzungu yamusuulawo lwa kuzaala mwana wa kubiri
Waliwo omuwala eyali amaze emyaka egiwera 5 nga apepeya n’omumerica eyamukwaniira mu wooteeri gye yali aweereza mmere n’amuzaalamu n’abaana kyokka we twogerera omumerica yamulekawo n’abaana takyabawa buyambi. Obuzibu bw’ava ku muwala kuzaala mwana owookubiri ng’ate omumerica yali yamugambirawo nti ayagala amuzaalire omwana omu yekka. Yatuuka n’okumwegayirira olubuto aluggyemu, naye omuwala ne yeerema nga alowooza bya kubalaata okutuusa omusajja lwe yamusuulawo.