Ettaka okusimwa maramu: Aba disitulikiti ye Mubende batabukidde aba BLB
Wabaluseewo obutakkaanya wakati wa disitilikiti y’e Mubende n’ab’ekitongole ki Buganda Land Board nga busibuka kw’ani nannyini ttaka omutuufu okutudde ekitebe kya disitilikiti eno. Disitilikiti ye Mubende evunaana ekitongole kino okugaba liizi eri kampuni ya China Railway N03 okusima malamu ku ttaka disitulikiti ly’egamba nti lyayo.