EYASALAWO BBA OBUSAJJA: Poliisi tennamuzuula, omusajja akyapookyeza mu ddwaliro
Police ekyaali ku muyiggo gw’omukazi Susan Namuganza eyakeculako obusajja bwa bba Moses Kawubanya ku kyaalo Busaana mu gombolola ya Nabilumba mu District ye Kamuli.Okusinzira ku mwogezi wa police mu ggwanga Fred Enanga , ono yadduka n’ekitundu ky’obusajja bwa bba era nga ye Kawubanya akyapooca nabiwundu mu ddwaliro.