Eyasimattuka akabenje k’e Kagoma, abaamutaasa okutemwako okugulu bamubanja bukadde
Omu ku bantu abaali mu kabenje akaagwa e Kagoma ku luguudo lw'e Bombo akyasobeddwa, olw'eddwaliro gye yaddukira okutaasibwa okuba nga libabanja obukadde obusoba mu 50. Walda Namuyinga nga wa myaka 23 gyokka, yali ku bodaboda nga agenda kukyalira ku mukwano gwe, motoka eyalemererwa okusiba n'emusabaala. Akabenje kano kafiiramu abantu 7.Nnyina wa Namuyinga ne muwala we bagamba nti beekudde buli kasente kebalina nga webituuse batunuulidde bazira-kisa okubaduukirira.