Obubbi e Masaka, abaagidde mu bbaasi y’essomero bakwatiddwa
Waliwo abantu basatu abakwatiddwa nga kigambibwa nti beenyigidde mu kumenya ennyumba z'abatuuze eziwera musanvu ku kyalo Misaali mu division ya Nyendo - Mukungwe mu kibuga Masaka. Abakwate be bamu ku kibinja ky’abantu abali eyo mu asatu abaazinze ekyalo kino mu kiro ekikeesezza leero okumenya amayumba gano nga kitegeerekese nti byekuusa ku nkaayana ku ttaka.Mmotoka eyekika kya Costa bano mwe baggyidde abatuuze bagyasizza endaabirwamu era nga mu kiseera kino nayo ekuumirwa ku poliisi y'e Nyendo.