Okulonda kw’abavubuka, abeegwanyisa ebifo ssi bamativu n’akakiiko
Abavubuka mu Division y’e Kawempe bataamidde ab’akakiiko k’ebyokulonda mu Division eno abali ku gw’okusunsula abaagala okuvuganya ku bifo by’abavubuka ku miruka n’ebyalo nga babalumiriza okukola akasoobo.Bano bagamba nti abali ku mulimu guno bakikola kagenderere okubalemese okusunsulwa nga babasaba ebisanyizo n’ebitetaagisa, kyokka nga banaabwe aba NRM bbo tebabakaluubiriza.Akakiiko k’eby’okulonda katubuulidde nti bangi ku bavubuka bano tebazza buggya mannya gaabwe m nkalala z’abalonzi ekibalemesa okuvuganya - okusinziira ku tteka lye by’okulonda.