Gav't etaddewo ekifo ba nkuba kyeyo webanajja amawulire amatuufu
Bankuba kyekyo abettanira amawanga ga Buwarabu okufuna emirimu, bakubirizidwa okwettanira ebitongole gavumenti bye yawa olukusa okubayunga ku mirimu gino. Okusinzira ku minisita omubeezi avunaanyizibwa ku mirimu nábakozi, Esther Anyakun banayuganda bangi bagudde mu buzibu bwókutulugunyizibwa nóluusi ne bafiirwa obulamu bwaabwe olwókweyambisa kampuni ezitamanyidwa gavumenti. Bino Minisita Anyakun abyogedde aggulawo ekifo ekiteereddwaawo ku kitebe kya minisitule y’ekikula ky’abantu nga kino kigendereddwamu okuwa bankubakyeyo amawulire gebetaaga ku mirimu n’amawanga gye baagala okukolera