Jajja w’obusiraamu, Kassim Nakibinge, avumiridde ebikolwa eby’okutulugunya abantu mu kulonda
Jajja w’obusiraamu, Omulangira Kassim Nakibinge, alaze obwennyamivu olw’ebikolwa eby’effujjo eby’eyolekera mu kalulu k'okuddamu okulonda okujjuza ekifo ky'omubaka wa Kawempe North. Nakibinge agamba nti okutulugunya abantu tekibakirizisa kuwagira muntu gwe bataagala. Ono asabye bekikwatako okukuuma n'okunyweza emirembe mu Kalulu ka 2026. Omulangira asinzidde mu Makaage e Kibuli gyasemberezza abagenyi be ku kijjulo kya Eid el Fitr.