Katikkiro avumiridde emivuyo egy’ali mu kalulu Ka Kawempe North
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga alaze obw’ennyamivu olw’emivuyo egyeyolekera mu kulonda kw’okujjuza ekifo ky’omubaka wa Kawempe North,bannamaggye mwebaakubira abalonzi ne bannamawulire. Katikkiro agambye nti enkola nga eno singa teekome, okulonda kwa 2026 kuyinza okufuuka okwobulabe. Bino okubyogera abadde asisinkane abakibiina ki National Unity Platform , ababade bazze okumwanjulira omubaka wa Kawempe North Elias Nalukoola , kko nokuwagira okugula emisinde gyamazaalibwa ga kabaka.