Katirima yeerangiridde ku bwa ssentebe bwa NRM e Ssembabule
Maj. Gen. Phinehas Katirima yeerangiridde ku bwa ssentebe bwa NRM e Ssembabule newankubadde okulonda ku kifo kino kwayiise olunaku lw’eggulo ooluvannyuma lw’emivuyo egyakwetobeseemu. Katirima ekifo kino akivuganyako ne Minisita Omubeezi ow’ebyobulamu ebisookerwako. E Namutumba nayo okulonda ku bwassentebe bw’ekibiina mu disitulikiti eno kwayiise oluvannyuma ng’entabwe yavudde kukuba nti kwategekeddwa mu ssaawa ezisukka kwezo ezikkirizibwa mu mateeka. Embiranye eri wakati wa Minisita omubeezi ow’ebyamayumba Persis Namuganza n’omubaka omukyala ow’e Namutumba Mariam Naigaga.